2 Chronicles 26:17-18

17 aAzaliya kabona ne bakabona ba Mukama abalala abazira kinaana ne bagenda gy’ali, 18 bne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.”

Copyright information for LugEEEE